Numbers 21:21-25

Sikoni Awangulwa

21 aAwo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

22 b“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

23 cNaye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24 dIsirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 25 eIsirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde.
Copyright information for LugEEEE